Abantu 10 beebattibwa mu Kampala n’emirirwano wakati w’omwezi Ogwokusatu nga 18 n’Ogwomusanvu nga 30 mu kiseera nga bannansi bali ku muggalo mu kulwanyisa Covid-19.
Okusinzira kw’alipoota ku kitebe kya Poliisi mu Kampala, abantu 10, battibwa baganzi baabwe ate 402 baafuna ebiwundu ssaako n’abamu okutwalibwa malwaliro nga bali mu mbeera mbi.
Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano anokoddeyo ebintu, ebyavaako okulwanagana n’okutingana mu kiseera nga bannansi bali ku muggalo omuli obwenzi obusukkiridde, ettamiro, obwavu ssaako n’abasajja okulemwa, okulabirira amaka gaabwe.
Onyango agamba nti emisango gyonna egy’abantu abaafa mwe muli abakyala okutta abaami, n’abaami okutta abakyala olw’obutakaanya awaka.
Mungeri y’emu Onyango agambye nti Poliisi etandiise okusomesa abantu engeri gye bayinza okwetangira okutwalira amateeka mu ngalo n’okweyambisa abakulembeze ku kyalo ogonjoola ensonga zaabwe.