Robert Sebuufu yewozezaako ku bigambibwa nti yali muganzi wa Violet Kakai eyali omusawo ku IHK eyattibwa mu bukambwe.

Kakai myaka 32 yattibwa nga 1 omwezi guno Ogwomunaana ku kyalo Bbumbu –Kiteezi mu disitulikiti y’e Wakiso nga baamukuba embazzi ku mutwe n’okumutematema.

Kakai yattibwa bba Simon Shimanya myaka 40 nga musomesa era baamukwattidde mu disitulikiti y’e Isingiro nga 12 omwezi guno Ogwomunaana.

Ku Poliisi, Shimanya agamba nti yatta mukyala we lwa bwenzi wadde yali yakamuzaalamu abaana basatu (3).

Agamba nti ku lunnaku lwatta mukyala we Kakai, omukyala yakomawo ng’ali ne Sebuufu mu kamotoka akatono era ng’omusajja, yafuna obusungu nakwata embazzi okulumba okutta Sebuufu olw’okusigula mukyala we, wabula omukyala yateekayo omutwe mu ngeri y’okutaasa omusajja, naamutema.

Omugenzi Kakai ne bba omutemu Simon Shimanya

Mungeri y’emu agamba nti omukyala Kakai yalina mu ntekateeka okutunda ettaka okutudde ennyumba ye ne Sebuufu, nga nakyo, kyayongera okumuggya mu mbeera.

Wabula mu sitetimenti ya Poliisi, Sebuufu agamba nti kituufu Kakai yali amumanyi bulungi kyokka yali mukwano gwe nnyo.

Sebuufu agamba nti teyali muganzi we nga n’olunnaku lwe yattibwa, yali waka.

Mungeri y’emu asambaze ebyogerwa nti Shimanya yali agenda kumutema embazzi ku lunnaku Kakai lwattibwa.

Ebigambo bya Sebuufu biraga nti Poliisi erina okunoonyereza ennyo okuzuula omulimba wakati wabwe wadde Shimanya ali ku musango gwa butemu mu kiseera kino.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire agamba nti Poliisi eyongedde amaanyi mu kunoonyereza, okuzuula ekituufu.
Kigambibwa Shimanya oluvanyuma lw’okufuna siriimu olw’obwenzi, omukyala Kakai yagaana okuddamu okwegatta naye ng’alina okunoonya omusajja omulala, omusajja kwe kumutta olw’ebubba.