Poliisi mu kibuga Dar es Salaam mu ggwanga erya Tanzania ekutte abakyala ab’enjawulo abatunda akaboozi mu kiseera kibo eky’okulwanyisa Covid-19.

Mu kikwekweeto, abasukka mu 10 bakwattiddwa ssaako n’abasajja abasangiddwa nga balamuza omukwano.

Abamu basangiddwa mu Loogi nga bali mu kaboozi ate abalala nga besigamye ku bisenge basinda mukwano.

Kigambibwa, bangi ku bakyala batunda omukwano wakati wa 10,000 ne 15,000 ku ssente ze Tanzania.

Okusinzira ku Minisitule y’ebyobulamu mu ggwanga erya Tanzania, bangi ku baana abato bayingidde mu kwetunda, ekiyinza okwongera okutambuza obulwadde.

Wabula Poliisi esuubiza okwongera ebikwekweeto, abakyala bonna abatunda omukwano bakwattibwe mu bwangu babitebye.