Ekiyongobero kibuutikidde abatuuze ku kyalo Busamaga ku kibuga kye Mbale, abadde omukozi ku ddwaliro lya Cure Children bwe yatugidde mu nnyumba.

Omulambo gwa Simon Ejatumu, gusangiddwa nga gulengejja mu kazigo mwabadde asula ku ssaawa nga 4 ez’okumakya ga leero.

Okusinzira ku ssentebe w’ekyalo Hamdan Khaukha, omugenzi alese ekiwandiiko ekikambwe mu ngeri y’ekiraamo, ekiraga nti yesse olw’obuzibu bwe yafunye ku mulimu ate ng’alina famire era abatuuze ssaako ne Poliisi basigadde basobeddwa.

Ssentebebe One Final

Mungeri y’emu atabukidde ba Landiloodi, abakirizza abantu okuyingira mu nju zaabwe nga tebayanjuddwa mu bakulembeze ate ne bavaayo okusaba okuyambibwa singa bafuna obuzibu.

Ssentebbe Two Final

Ate bbo abatuuze nga bakulembeddwamu Stephen Wambi ne Samson Wodulu bagamba nti Ejatumu ayinza okuba nga yesse olw’okumuyimiriza ku mulumu.

Abagamba nti okuva sabiti ewedde ku Mmande takyakola, ekiraga nti baali bamuyimirizza.