Abali ku ddimu ly’okulwanyisa Covid-19 mu disitulikiti y’e Mukono bali ku muyiggo okunoonya abantu 3 abakebeddwa nga balina Covid-19 kyokka nga bekwese mu kiseera kino.

Abanoonyezebwa kigambibwa batuuze mu bitundu bye Seeta, Tawuni Kanso y’e Katosi ssaako ne ggoombolola y’e Mukono.

Okusinzira ku ssentebe w’akakiiko akali ku ddimu ly’okulwanyisa Covid-19 mu disitulikiti y’e Mukono, RDC Fred Bamwine, abalwadde abanoonyezebwa bawaddeyo ennamba z’essimu enfu nga bagibwako ‘Sampo’, ekikaluubirizza omulimu gw’okubazuula.

RDC Bamwine agamba nti Mukono, yakafuna abantu 5 abalwadde 5, omu yafunika mu Gwokutaano ate ku 4 abazuuliddwa, 1 basobodde okumuzuula, 3 bakyabuze, ekyongedde okutiisa abatuuze, nti obulabe bwolekedde mu kitundu kyabwe.

RDC Bamwine

Ate akulira eby’obulamu mu disitulikiti y’e Mukono Dr.Stephen Mulindwa agamba nti okuva sabiti ewedde, bali mu kunoonya balwadde abo, wabula bakyabuze.

Dr. Mulindwa agamba nti bagenda kutandiika enkola ey’okuggyako abantu ebikwata ku ndaga muntu zaabwe n’okubakuba ebifaananyi, kiyambeko okubazuula amangu, okubaggya mu bantu, okutangira Covid, okusasaana.