Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Muyenga slum, e Masese mu kibuga kye Jinja, omukyala bw’attiddwa mu ngeri ewuninkiriza abatuuze.

Omukyala Robinah Nabukonde ali mu gy’obukulu 35 akubiddwa amasanyalaze bw’abadde eyanika engoye enkya ya leero.

Kigambibwa Nabukonde abadde ayanika ngoye za Kasitoma we, nga waaya agenzeeko amasanyalaze.

Muwala w’omugenzi Hasifah Naiwumbwe agambye nti nnyina nga tannagwa wansi, waaya kwabadde ayanika engoye, evuddemu ekkikka ekiddugavu era avudde ebyovu mu kamwa,okutuusa lw’afudde.

Omwana Naiwumbwe

Ate neyiba Mariam Akello, agambye nti omugenzi waaya ebadde emukutte mu bulago era ekutuse ne mutta bw’abadde agirongoosa okwanika engoye.

Akello agamba nti bakoze kyonna ekisoboka okumutaasa nga tannafa wabula tekisobose.

Omulambo gugiddwawo ne gutwalibwa mu ggwanika ly’eddwaaliro e Jinja okwekebejjebwa.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira Abbey Ngako, agambye nti abatuuze begumbulidde okubba amasanyalaze, ekivuddeko omuwendo gw’abattibwa okweyongera.

Ngako agamba nti essaawa yonna, ekikwekweeto, kyakutandiika ku benyigidde mu kubba amasanyalaze.