Kyaddaki munna kibiina kya FDC Dr. Kizza Besigye asabukuludde Pulaani B gy’agenda okutambuza eggwanga lyona, bannansi okugyenyigiramu mu kuleeta enkyukakyuka mu ggwanga.

Besigye eyakavuganya ku bukulembeze bw’eggwanga lino emirundi 4, yalangiridde nti 2021 tagenda kuddamu kwesimbawo, nga FDC egenda kuleeta omuntu akulembera Pulaani A nga yesimbyewo ku ntebe y’obukulembeze bw’eggwanga nga ye, agenda kulembera Pulaani B.

Besigye mu kwogerako eri bannamawulire ku Katonga Road mu Kampala, agambye nti Pulaani B, mulimu bannansi okuddamu essuubi n’okwenyigira mu kuleeta enkyukakyuka mu ggwanga.

Mungeri y’emu agambye nti wakutambula eggwanga lyonna okulaga bannansi ebirungi ebiri mu kwenyigira mu kuleeta enkyukakyuka mu ggwanga lyabwe nga bayita mu kulonda okwamazima n’obwenkanya n’okuzza ekitiibwa mu sseemateeka wa Uganda.

Mungeri y’emu alaze abantu abagwanidde okwenyigira mu Pulaani B omuli abantu abetaaga obuyinza mu ggwanga lyabwe, abatyoboddwa eddembe lyabwe olwa Gavumenti ya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ssaako n’abo, abagamba nti betaaga obwenkanya mu ggwanga lyabwe.

Eddoboozi lya Besigye

Ebigambo bya Besigye biraga nti omubaka we Kyadondo East mu Palamenti era Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ali mu ssanyu kuba 2021 y’omu kw’abo abalina omukisa okudda mu bigere bya Pulezidenti Museveni ssinga anaawangula okulonda mu 2021.

Wabula wadde waliwo bannakibiina ki NRM abasobeddwa olwa Pulaani B eya Besigye, Pulezidenti Museveni ayogedde emirundi mingi nti tewali muntu yenna ayinza kutabangula ggwanga lino.