Bya Nalule Aminah
Abaddumira Poliisi mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo, balagiddwa okwongera amaanyi mu bikwekweeto, okukwata abantu bonna abegumbulidde okutambula mu ssaawa za Kafyu.
Ekiragiro, kiyisiddwa abakulu mu kitongole kya Poliisi nga kivudde ku bantu okwongera okumenya amateeka wakati mu kulwanyisa Covid-19.
Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Afande Polly Namaye, bangi ku bannansi begumbulidde okutambula nga Masiki zitambulira kalevu, abamu nga tebazirina, ekigenda okutambuza obulwadde.
Mungeri y’emu agambye nti bodaboda zongedde okutambula okusukka essaawa 12 ez’akawungeezi, takisi n’emmotoka z’obwannanyini okutambula mu ssaawa za Kafyu, amaduuka okusigala nga maggule ssaako n’abantu okusigala nga batambula era mu ssaawa za Kafyu.
Namaye agamba nti balagidde Poliisi eyongera amaanyi mu bikwekweeto era bonna abanaakwatibwa, bali ku misango gya kugyemera mateeka, ekiyinza okutambuza obulwadde.