Omusomesa yesse mu disitulikiti y’e Kamuli nga kivudde ku mabanja ssaako n’okusiiba enjala.

Jimmy Buyonga myaka 30 abadde musomesa ku Kasambira Preparatory Primary School ku kyalo Bukapere mu ggoombolola y’e Bugulumbya mu disitulikiti y’e Kamuli era omulambo gwe, gusangiddwa mu kibiina ky’abayizi abasoma eky’omusanvu nga gulengejja ku mulabba.

Omu ku batuuze, Rose Namukose agamba nti abasomesa, mu massomero g’obwannanyini baakoma okufuna omusaala mu Gwokusatu, 2020 nga omulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni agadde amassomero mu kutangira Covid-19, ekyongedde okuzibuwaza embeera.

Ate Saddam Byakika, nga naye mutuuze, agambye nti omugenzi abadde alidde looni ku bantu ab’enjawulo nga abasuubiza okuzza ensimbi zaabwe singa baddamu okusomesa wabula abantu okweyongera okubanja nga talina wakuggya ensimbi, y’emu ku nsonga evuddeko okwetta.

Michael Kasadha, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Busoga North agambye nti omulambo gugiddwawo ne gutwalibwa mu ggwanika ly’eddwaaliro ekkulu e Kamuli okwekebejjebwa.