Omuyimbi Rema Namakula essaawa yonna agenda kuzaalira bba Dr. Hamzah Ssebunya omwana wakati mu kwetekerateekera okujjaguza okuweza omwaka bukya beyanjule mu bazadde.
Rema yayanjula bba Dr. Ssebunya mu bazadde e Nabbingo ku lwe Masaka nga 14, November, 2019 era wasigadde emyezi 3 okuwera omwaka.
Mu kiseera kino Rema ali lubuto lukulu era bba ali mu ssanyu kuba essaawa yonna bagenda kumuzaalira omwana.
Rema anoonya mwana wa 2 oluvanyuma lw’okuzaala mu Eddy Kenzo omwana we eyasooka ate Ssebunya naye kigambibwa alina abaana kuba mu Buganda, omusajja tabalirwa nzaalo.
Rema alina omukolo gwe yabaddeko, abantu kwekuzuula ekituufu nti ddala ali lubuto lukulu, asulirira kuzaala.