Poliisi y’e Abim ekutte maama myaka 39 ku misango gy’okufumbiza muwala we atanetuuka.

Maama Maurice Auma nga mutuuze ku kyalo Nateete mu ggoombolola y’e Awach yakwattiddwa akawungeezi k’olunnaku Olwokutaano nga 28, August, 2020 nga kivudde ku batuuze okutemya ku Poliisi nti omuwala myaka 16 asindikiriziddwa okufumbirwa omusajja myaka 24.

Mu mateeka ga Uganda, omuntu yenna singa anyumya akaboozi n’omwana omuto ali wansi w’emyaka 18, avunaanibwa gwakusobya ku mwana era mu Uganda, musango gwa naggomola.

Maama Auma n’omusajja eyabadde yewangulidde omukyala Patrick Okech bonna batwaliddwa ku kitebe kya Poliisi ekya Abim era okunoonyereza kutandikiddewo mbagirawo.

Auma yabadde aweereddwa ente ssaako ne ssente enkalu, omuvubuka Okech okutwala muwala we abadde mu P6 ku Gwotapo Primary School mu disitulikiti y’e Abim.

Living Twazagye, addumira Poliisi mu disitulikiti y’e Abim agambye nti essaawa yonna Maama Auma n’omuvubuka Okech bakutwalibwa mu kkooti amangu ddala nga Poliisi afundikidde okunoonyereza.