Poliisi mu Kampala efulumizza alipoota eraga nti abasajja basseduvutto beyongedde amaddu mu kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19.

Okusinzira kw’alipoota ya Poliisi ku kitebe kya Poliisi mu Kampala ku CPS, abaana abawala 547 basobezeddwako mu bbanga lya myezi 4.

Alipoota eraga nti mu Gwomusanvu abaana 175 bebasobezebwako, mu Gwomukaaga 163, Gwokutaano 124 ate Ogwokuna 85.

Mu kunoonyereza, Poliisi egamba nti abasajja basukkiridde okweyambisa ebintu eby’enjawulo okulimbalimba abaana abawala omuli eby’okulya, eby’okunywa ssaako n’ensimbi enkalu.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, agambye nti amasomero okusigala nga maggale n’abaana abasukka mu bukadde 10 bali waka, y’emu ku nsonga lwaki n’okubasobyako kweyongedde mu kiseera kino.

Mungeri y’emu agambye nti waliwo n’abazadde abakwattiddwa lw’okusobya ku baana baabwe ssaako n’abamu, okusindika abaana mu kwetunda ku myaka emito.

Abamu ku bakwattiddwa ye Ssemaka Zura Mukamana ali mu gy’obukulu 40 ku Poliisi y’e Katwe ku misango gy’okusindika muwala we ali mu gy’obukulu 14 okwetunda.