Poliisi eri mu kunoonya omugagga Orema Charles amanyikiddwa nga Sipapa okwewozaako, ku masasi agaakubiddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo mu bitundu bye Kamwokya.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, omugagga Sipapa yabadde avuga emmotoka ekika kya Super Custom namba UBE 229E, kwekupangisa ekifo okumpi n’amaka ga Fred Nyanzi wayinza okupakinga.

Onyango agamba nti sipapa, amangu ddala yalumbiddwa abavubuka abatamanyiddwa, ne baasa endabirwamu ye mmotoka ye era wakati mu kwetaasa, sipapa yabadde n’abantu mundu, abakubye amasasi 3 mu bbanga.

Onyango agamba nti wadde Sipapa ne banne, tebalina muntu yenna gwe balumizza, banoonyezebwa okwewozaako ku mmundu zebalina, okusobola okulwanyisa abantu bonna abalina emmundu mu ngeri emenya amateeka.

Eddoboozi lya Onyango

https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2020/08/Onyango-Sipapa.mp3?_=1