Munnakibiina kya National Unity Platform (NUP), omuyimbi Joseph Mayanja amanyikiddwa nga Dr. Jose Chameleone afubutuse embiro okuyingira ebitooke, Poliisi bw’ekubye ttiyaggaasi okumugumbulula ssaako n’abawagizi be.
Chameleone eyeegwanyiza obwa Loodi meeya bwa Kampala, abadde akedde ku mukolo gw’okutongoza offiisi ze ku Balintuma Road, Kampala wabula Poliisi temukkirizza.
Poliisi ebadde yebulunguludde ekifo kyonna, erabudde Chameleone okuyimiriza omukolo, nga eky’abantu okungaana, kiyinza okutambuza Covid-19.
Chameleone alemeddeko n’okweyongerayo n’omukolo, ekiwaliriza abasirikale okweyambisa ttiyaggaasi okubagumbulula era Chameleone afubutuse okuyingira ebitooke olw’okutya ttiyaggaasi okumusiiwa n’okukwattibwa.
Abamu ku bakubiddwa ttiyaggaasi
Ate Samuel Lubega Mukaaku omu ku bakulembeddemu okutekateeka omukolo, agamba nti Poliisi esukkiridde okutyoboola eddembe lyabwe ery’okulemesa okunoonya abantu abagenda okukwata bendere zaabwe mu kulonda okubindabinda okwa 2021.
Wabula Chameleone agamba nti yakoze buli kimu, okuteekawo embeera y’okutangira Covid-19 omuli okwewa amabaanga wabula yewunyiza ate Poliisi okubalemesa.
Eddoboozi lya Chameleon