Kyaddaki omubaka we Nakaseke eyamaserengetta Semakula Luttamaguzi ne banne 22 bakiriziddwa okweyimirirwa.

Luttamaguzi yakwattibwa nga 26, omwezi oguwedde Ogwomunaana, ku kyalo Wakasanke ku luguudo oluva e Matugga okudda e Semuto, bwe yali agenda mu tawuni Kanso ye Semuto okuba olukungaana.

Abantu abalala, babakwatira mu Tawuni Kanso y’e Semuto nga balinze Luttamaguzi omuli Violet Nakalema eyeegwanyiza eky’omubaka omukyala owe Nakaseke.

Luttamaguzi ne banne baggulwako emisango 3 omuli okwenyigira mu bikolwa ebiyinza okutambuza Covid-19, okwefuula ekitagasa mu bantu n’okukuba olukungaana mu ngeri emenya amateeka.

Wadde emisango bagyegaana, omulamuzi wa kkooti esookerwako e Nakaseke Milly Nankya, yabasindika ku Limanda mu kkomera e Kitalya ne Kasangati okutuusa olunnaku olwaleero.

Mu kkooti nga bakulembeddwamu bannamateeka waabwe Richard Lumu ne Asuman Basaalirwa basabye omulamuzi okweyimirirwa, era omulamuzi akkiriza okusaba kwabwe.

Nga basinzira mu nkola ya ‘Video Conferencing’, omulamuzi abayimbudde nga buli omu asabiddwa ssente emitwalo 20 ez’obuliwo, ababeyimiridde miriyoni emu etali tabuliwo, okuggyako omusibe omu yekka ali mu gy’obukulu 16 tasabiddwa kintu kyonna.

Omulamuzi Nankya bonna abalagidde okudda mu kkooti nga 1, omwezi ogujja Ogwekkumi, 2020.