Wakati ng’ensi yonna, abantu bali mu kulwanyisa Covid-19, wuuno omuyimbi omuto Wakanda Prince amanyikiddwa nga Nelly Trussler avuddeyo okulaga nti y’omu ku baana abalina talenti y’okuyimba era mwetegefu okuwangulira Uganda BET.

Nelly Trussler nga Munnayuganda awangalira mu Canada afulumizza ekyasi ky’oluyimba ‘Million Dollar Love’ era vidiyo efuluma essaawa yonna.

Oluyimba ‘Million Dollar Love’ lwa mukwano okuyambako abantu okutegeera ensonga za Laavu n’okulweyambisa okuwaana baganzi baabwe.

Nelly Trussler wadde munnayuganda, kitaawe ali mu nsi z’ebweru ate nnyina mukyala musuubuzi mu Kampala nga mutuuze we Makindye-Kampala.

Talenti ya Nelly Trussler, kabonero akalaga nti Uganda erina abaana abalina talenti nga basobola bulungi nnyo okuyimba mu nnimi ez’enjawulo.