Omuyimbi Rockberry Records amanyikiddwa nga Rockcy Nsekanabo naye avuddeyo okuvuganya mu kisaawe ky’okuyimba okulaga nti ddala y’omu ku baana abalina talenti.

Nsekanabo muyimbi muto era alina talenti mu kuwandiika ennyimba, okuyimba Afropop ne RNB.

Rockcy Nsekanabo
Rockcy Nsekanabo

Yazaalibwa mu 1984 era yatandika okuyimba ku myaka 14, musajja Munnayuganda kyokka alimu omusaayi gwe Rwanda.

Mu 2005, Rockcy yafulumya oluyimba lwe olusooka “J’aime ça”, oluvanyuma yagenda mu Kigali, Rwanda mu 2007, gye yafulumiza oluyimba olw’okubiri ‘Try’.

Rockcy akoze ennyimba ez’enjawulo ezimufudde okwenjawulo mu kisaawe ky’okuyimba omuli Te quiero n’endala.

Mu 2010 ng’ali mu Uganda, yafulumya Let’s set it on” ne “Ce soir là.