Palamenti ekyalinda alipoota y’abasawo okuva ku ddwaaliro ekkulu e Mulago, okuzuula ekituufu, ekyavuddeko omubaka Omukyala owa disitulikiti ye Pallisa Faith Alupo okufa.

Alupo yafudde akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Mmande era waliwo ebigambibwa nti yafudde Covid-19.

Wabula omwogezi wa Palamenti Helen Kaweesa, agambye nti ekituufu ekyavuddeko omubaka Alupo okufa tekimanyikiddwa mu kiseera kino, okutuusa ng’eddwaaliro lifulumizza Alipoota.

Eddoboozi lya Helen

https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2020/09/Kaweesi-One-Final.mp3?_=1

Mu Palamenti akawungeezi ka leero, sipiika Rebecca Alitwala Kadaga, abikidde Palamenti mu butongole era Palamenti esirise okumala eddakika namba, olw’okujjukira Omugenzi, ebirungi byakoledde eggwanga n’Omutonzi okumusasira ebyamusobako.

Alupo yalondebwa mu Gwomukaaga 2018 oluvanyuma lwa munnakibiina kya FDC eyali alondeddwa okukikirira abakyala be Pallisa Catherine Achola okugibwa mu Palamenti oluvanyuma lw’akakiiko k’ebyokulonda okutankana ebiwandiiko byeyakozesa mu kwewandiisa.