Kyaddaki Poliisi n’amaggye bakutte abantu basatu (3) abagambibwa okwenyigira mu kutta omuntu mu disitulikiti y’e Luweero.

Musa Kitinda Bisaso, eyali omutuuze ku kyalo Tweyanze mu ggoombolola y’e Katikamu nga mulimi, yattibwa nga 28, omwezi oguwedde Ogwomunaana.

Abakwattiddwa kuliko muganda w’omugenzi omusajja ali mu gy’obukulu 50 ng’atwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Luweero ne bannamaggye 2 nga bali ku ddaala lya Private okuva mu kitongole kya Special Forces Command (SFC) e Nakasongola era nga bonna bali ku kitebe ky’amaggye e Makindye.

Okusinzira ku Omwogezi wa SFC Maj Jimmy Omara, abakwattiddwa bali ku misango gya butemu era essaawa yonna bakutwalibwa mu kkooti, amangu ddala nga bafundikidde okunoonyereza.

Ate omuddumizi w’amaggye mu disitulikiti y’e Luweero Abraham Tukundane, agambye nti muganda w’omugenzi akwattiddwa, yapangisa abamaggye okutta muganda we era basobodde okweyambisa essimu okumulondoola okutuusa lwe yakwattiddwa.

Kigambibwa, obutakaanya ku ttaka, y’emu ku nsonga lwaki Bisaso yakubwa amasasi, agaamutirawo.