Kyaddaki Poliisi enoonyereza ku buzzi bw’emisango etubuulidde wetuuse mu kunoonyereza ku by’okutta omwana Faith Kyamagero myaka 5 eyatemeddwako omutwe, ku kyalo Kijabwemi mu ggoombolola y’e Kimanya Kyabukuza mu kibuga kye Masaka.

Poliisi yakutte omusajja Nuwashaba Joseph myaka 22, nga baamukwattidde ku geeti ya Palamenti mu Kampala ku Mmande n’omutwe gw’omwana nga guzingiddwa mu kaveera kakiragala ne guteekebwa mu bokisi.

Mu kwattibwa, Nuwashaba yagambye nti yabadde atwalira sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga ekirabo kye nga kyavudde Masaka.

Wabula mu kunoonyereza, Poliisi agamba nti wadde abazadde bakwasiddwa omutwe gw’omwana waabwe okuziikibwa, omwana nga tebanamutta yasobezebwako.

Okusinzira ku mwogezi w’ekitongole ekyo, Charles Twine, Omwana Kyamagero okumutta, kiraga nti Nuwashaba yali n’abantu ab’enjawulo wabula okunoonyereza kukyagenda mu maaso.

Eddoboozi lya Twine

https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2020/09/Twine-head-6.mp3?_=1