Kyaddaki Poliisi ekutte omwana ku misango gy’okutta nnyina oluvanyuma lw’okumusobyako.

Omwana Joseph Asiimwe ali mu gy’obukulu 34 yakwattiddwa ku by’okutta Nakibule Restatuta abadde mu myaka 65 nga mutuuze ku kyalo Katojo Cell mu ggombolola y’e Nyakayonjo mu disitulikiti y’e Mbarara.

Asiimwe yalumbye nnyina akawungeezi k’olunnaku olwa Ssande bwe yabadde mu kisenge, namusobyako oluvanyuma namunyoola ensingo namutta.

Amangu ddala yawaludde Omulambo nagutwala mu kinaabiro, emanju w’ennyumba, okubuzabuza obujjulizi.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, Samson Kasasira agambye nti omutabani Asiimwe akwattiddwa era akkirizza okwenyigira mu kutta nnyina.

Asiimwe aguddwako omusango gw’obutemu era Poliisi etandiise okunoonyereza ekyavuddeko omwana okutta Nnyina.