Poliisi ekutte maama n’abantu 4 ku misango gy’okutta bba nga kivudde ku butakaanya ku ttaka.

Ssemaka Yoram Twebaze myaka 63 abadde omutuuze ku kyalo Nyaruhangye mu ggombolola ye Bwambara mu disitulikiti y’e Rukungiri, yattiddwa nga baamunyodde ensingo, omulambo ne bagusuula mu Kalituunsi.

Mu kunoonyereza, Poliisi ekutte Nnamwandu Slivia Kwarija ku misango gy’okutta bba ssaako n’abantu 4 abagambibwa nti bamuyambyeko okutuukiriza ettemu okuli mutabani we Ivan Ndyabagye.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, Elly Maate omutabani Ivan yasse kitaawe oluvanyuma lw’okugaana okumugabira ku ttaka okuzimbako ennyumba era kigambibwa Pulaani ne Nnyina yagibaddemu.

Maate agamba nti bonna 5 abakwattiddwa, bagenda kubayambako mu kunoonyereza era bonna baguddwako emisango gy’obutemu.