Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda omulamuzi Simon Byabakama alaze engeri gye betegese mu kusunsulamu, abegwanyiza obukulembeze bw’eggwanga lino mu kulonda okubindabinda okwa 2021.

Byabakama agamba nti bagenda kweyambisa ennaku z’omwezi nga 2 ne 3, November, 2020, okusunsulamu, nga ku mulundi guno, emikolo gigenda kubeera ku kisaawe e Kololo olwa Namboole, okutwala abalwadde ba Covid-19.

Ate ku balonzi abewandiisa okulonda, Byabakama agamba nti abakyala bangi ku mulundi guno, nga basukka mu bukadde 9 ate abasajja abali mu bukadde 8.

Eddoboozi Lya Byabakama

Mungeri y’emu avumiridde effujjo, okwetematema, okulwanagana ebyabadde mu kamyufu k’ekibiina ki NRM mu kulonda abakulembeze abanaakwata bendera ku bukulembeze obw’enjawulo mu kulonda kwa bonna okwa 2021.

Omulamuzi omutendeke Byabakama, alabudde Bannayuganda okwegata awamu, mu kulwanyisa embeera yonna eyinza okutabangula okulonda.

Mu kiseera kino ssentebbe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Museveni yekka, yamaze okutegeeza akakiiko k’ebyokulonda nti wakusunsulwamu nga 2, November, 2020 ku ssaawa 4 ez’okumakya.

Ku bigenda mu maaso mu ggwanga, biraga nti Pulezidenti Museveni alidde empanga kuba ye munnayuganda asoose okutegeeza akakiiko k’ebyokulonda olunnaku lw’agenda okusunsulwamu.