Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Nyenje mu ggombolola y’e Ggoma mu Monicipaali y’e Mukono, mutuuze munaabwe Christopher Batte myaka 58  bw’attiddwa mu ngeri ewuninkiriza abatuuze.

Batte abadde avuga sipeesulo era bamusse okusobola okubba emmotoka ye ekika kya Toyota Premio, namba UAY 765H ng’ebadde njeru.

Kigambibwa Batte kati Omugenzi, apangisiddwa abasajja 3 okubatwala mu kyalo Bajjo mu ggoombolola y’e Ggoma kyokka webatuuse mu kkubo, bamwefuulidde ne bamutuga okutuusa okufa saaako n’okumutuunga ekintu ekisongovu ku mutwe emirundi 5 ne ku mukono gwa ddyo emirundi 3.

Wabula wakati mu kudduka, emmotoka ebalemeredde ne bagwa mu luwonko ate ne bekubira enduulu okusaba obuyambi, abatuuze okuggya, amaaso gatuukidde ku musaayi era bagenze okubikula buutu y’emmotoka, nga Batte attiddwa.

Omu ku batemu abakubiddwa abatuuze okwagala okumutta wabula Poliisi emutaasiza, ate omukyala ssaako n’omusajja omulala, baliira ku nsiko mu kiseera kino.

Omu ku batuuze abeerabiddeko n’agaabwe John Mutunzi alambuludde embeera yonna.

Eddoboozi lya Mukunzi

Mutabani w’omugenzi Peter Kazibwe, wakati mu kulukusa amaziga, awanjagidde Poliisi okunoonyereza abatemu bonna abenyigidde mu kutta Kitaawe.

Eddoboozi lya Kazibwe

Poliisi mu kwekebejja ekifo, ezudde omuguwa ssaako n’akambe era omulambo gutwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa.

Amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owesigyire agambye nti omu ku batemu akwattiddwa era atwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mukono ng’ali mu mbeera mbi olwabatuuze okwagala okumutta.

Poliisi egamba nti agenda kubayambako mu kuzuula banne abenyigidde mu ttemu.

Ekifaananyi kya Bukedde