Ekitongole ekivunaanyizibwa okuwandiisa ebibiina by’obwannakyewa ekya National Bureau for Non-Governmental Organizations, kiyimiriza emirimu gyonna egibadde gikolebwa wansi w’ekibiina kya Bryan White Foundation, eky’omugagga Bryan Kirumira amanyikiddwa nga Bryan White, nga ne Layisinsi yakyo, bagimugyeko.

Okusinzira ku mwogezi w’ekitongole ekyo, Patrick Onen Ezaga, baafuna ebbaluwa okufuna eri ssentebbe w’akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu Palamenti ku neyisa ya Bryan White, kwe kunoonyereza ku kibiina kye, ekyawandisibwa mu Janwali wa 2019.

Okunoonyereza kulaga nti Bryan White ng’asinzira ku kibiina kye, akabasanyizza abawala ab’enjawulo, ekibiina kyava dda ku mulama gw’okuyamba abantu, kiddukanyizibwa omuntu omu era y’emu ku nsonga lwaki, kigiddwako layisinsi.

Ezaga era agamba nti wadde Bryan White Foundation egiddwako Layisinsi, emisango gyonna egivunaanibwa Bryan White, akyalina okwewozaako.

Eddoboozi lya Ezaga