Buli lunnaku, omuyimbi Lydia Jazmine ayongera okukola ebintu eby’enjawulo okulaga nti mukwano gwe era muyimbi munne Fik Fameica musajja wanjawulo ku basajja abalala.

Jazmine
Jazmine

Waliwo ebigambibwa nti Jazmine ali mu laavu ne Fik era ambu ennaku zino omukwano gwabwe guli mu ggiya nnene wabula Jazmine agamba nti Fik mukwano gwe nnyo mu kisaawe ky’okuyimba kuba musajja alina talenti, empisa ate muntu w’abantu.

Fik ne Jazmine balina oluyimba olupya ‘Binji‘ era kigambibwa olw’okuba bali mu laavu bombi, y’emu ku nsonga lwaki n’oluyimba lwabwe lwa mukwano na kwesubiza.

Jazmine ne mukwano gwe Fik
Jazmine ne mukwano gwe Fik

Wabula wadde bagezaako kutumbula luyimba, ebifaananyi byabwe biraga nti wakati waabwe waliwo ekintu ete abaganda bagamba nti, ‘awali omukka tewabula muliro’.

Jazmine ne mukwano gwe Fik
Jazmine ne mukwano gwe Fik