Poliisi mu Kampala etandiise okunoonyereza ku kivuddeko omuliro ogusanyizaawo ekizimbe kya Ivory Tower, ekimu ku bisinga obukadde ku Yunivasite y’e Makerere.

Omuliro gutandiise mu kiro ekikeesezza olwaleero era ebintu byabukadde bisanyiziddwawo omuli n’ebiwandiiko bya Yunivasite.

Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Asp Luke Owoyesigyire, omuliro gutandiise ku ssaawa nga 6 n’ekitundu ez’ekiro era amangu ddala Poliisi neyitibwa bukubirire.

Asp Luke Owoyesigyire
Asp Luke Owoyesigyire

Owoyesigyire agamba mu kiseera kino Poliisi esobodde okuzikiza omuliro era okunoonyereza ku kivuddeko omuliro ogwo kutandikiddewo mbagirawo.

Wabula amyuka Chansala ku Yunivasite y’e Makerere Prof Barnabas Nawangwe agamba nti Poliisi yatuuse mu budde okuzikiza omuliro kyokka nga tebalina mmotoka zisobola kusindika mazzi waggulu ku kizimbe.

Ivory Tower
Ivory Tower

Agamba nti Poliisi yabazinyamwoto weyafunidde emmotoka esobola okusindika amazzi waggulu ku kizimbe, ng’omuliro gweyongedde okusasaana.

Prof. Nawangwe agamba nti ebiwandiiko byonna ku kizimbe omuliro gye gutandikidde bisanyiziddwawo era ekiteeberezebwa nti guvudde ku masanyalaze kuba gutandikidde mu siiringi.

Prof Barnabas Nawangwe
Prof Barnabas Nawangwe

Nawangwa ategeezeza nti kuno kusoomoozebwa kwamaanyi nga yunivaasite yeetegekera okuweza emyaka 100 era akakasizza nti ofiisi okuli y’ebyensimbi n’evunaanyizibwa ku bakozi zonna zaasaanyewo.

Ate akulembera abayizi ku yunivasite e Makerere (Guild President) Julius Katerega agambye nti offiisi ezisinga obukulu ku yunivasite omuli ekola ku by’ensimbi, okutereka ebiwandiiko, okubala ebitabo, omwogezi wa yunivasite zonna ziweddewo.

Ivory Tower eweddewo
Ivory Tower eweddewo

Mungeri y’emu agambye nti ekizimbe kya Ivory Tower ekyazimbibwa mu 1941 ku bukulembeze bwa George C. Turner wakati wa 1939-46, kye kibadde ffeesi ya Yunivasite e Makerere era okusanawo, ekitiibwa kya Makerere kiweddewo.

Julius Katerega
Julius Katerega

Mungeri y’emu agambye nti omuliro gutandikidde mu offisi evunaanyizibwa ku bya ssente era ebiwandiiko byonna bifuuse vvu.

Wabula tukitegeddeko nti waddewo okunoonyereza okugenda mu maaso ku Yinivasite e Makerere ku bya ssente era waliwo n’okubala ebitabo okubadde kugenda mu maaso okuzuula engeri ssente gye zikwatibwamu n’okuzuula oba waliwo ssente ezabulankanyizibwa.

Abatuunulizi b’ensonga bagamba nti Poliisi erina okunoonyereza ennyo okuzuula ekituufu ekivuddeko omuliro kuba bwe kiba kituufu nti waddewo okunoonyereza n’okubala ebitabo ku yunivasite, kisoboka bulungi nnyo omuntu yenna okuteekera ekizimbe omuliro, okusobola okusanyawo obujjulizi.

Wadde amyuka Chansala Prof. Nawangwe asuubizza okuzzaawo Ivory Tower mu bwangu ddala okusobola okukomyawo ekitiibwa kya Makerere, abakugu bagamba nti, kisoboka bulungi nnyo okwokya ekizimbe kuba y’emu ku ngeri ennyangu ey’okusanyawo ebiwandiiko ebiyinza okweyambisibwa mu kunoonyereza ku nsonga yonna ku Yunivasite.