Omuliro ogutategerekese kweguvudde gukutte ekimu ku kizimbe ekikulu ku Yunivasite y’e Makerere ekitambulizibwamu emirimu ekya Ivory Tower.
Poliisi yabazinyamwoto eyitiddwa mu bwangu okuyambako okuzikiza omuliro mu kiro ekikeesezza olwaleero.

Omuliro ku Ivory Tower
Omuliro ku Ivory Tower

Mu kiseera kino, tekinategeerekeka muliro guno kweguvudde wabula Poliisi etandikiddewo okunoonyereza mu bwangu.
Wabula abamu ku badduukirize bagamba nti omuliro guyinza okuba guvudde ku masanyalaze.

Amyuka Chansala ku Yunivasite y’e Makerere Prof Barnabas Nawangwe agambye nti bingi ku biwandiiko bya Yunivasite bisanyiziddwawo.