• 699
    Shares

Poliisi ekutte abantu 2, bagiyambeko mu kunoonyereza ku muliro ogwasanyizaawo Ivory Tower, ekimu ku kizimbe ekikadde, ekibadde ffeesi ku yunivaasite Makerere olunnaku olw’eggulo.

Ivory Tower kubaddeko offiisi ez’enjawulo omuli offiisi y’ebyensimbi, evunaanyizibwa ku bakozi, okubala ebitabo, eby’amawulire ne offiisi endala era Poliisi eri mu kunoonyereza ku kyavuddeko omuliro.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, abakwattiddwa kuliko omusirikale n’omukuumi mu kitongole ky’obwannanyini ekikuumi.

Fred Enanga
Fred Enanga
Fred Enanga
Fred Enanga

Enanga agamba nti abakwate, bebalina okuuma ekizimbe kyokka balemeddwa okubaako kye bakola, ekyawadde omukisa omuliro, okusanyawo ekizimbe.

Mu kunoonyereza okusokerwako, kulaga nti omusirikale yabadde atambuddemu ate omukuumi wa Yunivasite e Makerere gwe yaleeta, kiraga nti yabadde yebasse.

Enanga era agamba nti Makerere obutaba na nsibuko y’amazzi, nga balina kugakima ku ssaawa wa Queen, kyawadde omukisa omuliro okusanikira ekizimbe.


  • 699
    Shares