Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Kisaana mu ggoombolola y’e Malangala mu disitulikiti y’e Mityana, webagudde ku kiwuduwudu ky’omwana eyattiddwa.

Omwana, abadde mulenzi wakati w’emyaka 5 ku 6 era ekiwuduwudu, kisangiddwa mu lutobazi lwe Kizzikibi, nga kiteekeddwa mu kadeeya.

Okusinzira ku batuuze, omwana tamanyikiddwa ku kyalo kyabwe era kiteeberezebwa nti omulambo, gusuuliddwa mu kitundu kyabwe.

Ekiwuduwudu kitwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaaliro ekkulu e Mityana okwekebejjebwa nga Poliisi bw’enoonya abatemu, abaatutte omutwe.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Wamala Racheal Kawala, abatemu baguddwako gwa butemu era Poliisi etandikiddewo okunoonyereza.

Kinnajjukirwa nti sabiti ewedde, Poliisi yakwata omusajja Nuwashaba Joseph myaka 22 ku by’okutta omwana Faith Kyamagero myaka 3 okuva ku kyalo Kijabwemi mu ggoombolola y’e Kimanya Kyabukuza mu kibuga kye Masaka era Poliisi yamukwatira ku Palamenti n’omutwe gw’omwana bwe yali agamba nti aleetedde sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga ekirabo.