Munnakibiina kya National Unity Platform (NUP) eyabadde akwasiddwa kaadi okwesimbawo ku bwa Loodi Meeya bwa Kampala Latif Sseebagala avudde mu lwokaano.

Ssebagala nga ye mubaka wa Palamenti akikirira abantu be Kawempe eyo mambuka, agambye nti okuvaamu akikoze, okusigala nga bali wamu nga bannayuganda abetaaga enkyukakyuka.

Agamba nti wadde avudde mu lwokaano ku bwa Loodi Meeya akyali munnakibiina kya NUP era alina okuwagira Robert Kyagulanyi Sentamu ku bukulembeze bw’eggwanga lino mu kulonda kwa 2021.

Ssebagala asuubiza okutegeeza eggwanga ekiddako oluvanyuma lw’okusalawo obutesimbawo ku bwa Loodi Meeya.

Okuva 2019, Ssebagala azze ategeeza nga bw’agenda okwesimbawo ku bwa Loodi Meeya bwa Kampala nga y’emu ku nsonga lwaki ne bannakibiina kya NUP, bamuwadde kaadi yaabwe ku bwa Loodi Meeya ne bagaana okugiwa Joseph Mayanja amanyikiddwa nga Dr. Jose Chameleone.

Mu sabiti 2 eziyise, Ssebagala yawayamu naffe, naawa ensonga lwaki agwanidde okwesimbawo ku bwa Loodi meeya bwa Kampala.