Poliisi mu Kampala ekutte abantu 5 abaludde nga benyigira mu kutunda amassimu agabiddwa.

Abakwattiddwa bagiddwa mu Cooper complex mu Kampala, mu kikwekweeto ekikoleddwa, ekitebe kya Poliisi mu Kampala.

Mu kikwekweeto, Poliisi ezudde amassimu 90 okumpi n’ekifo webooleza emmotoka mu Cooper complex.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, abakwattiddwa, baludde nga basuubula amassimu agabiddwa ku basuubuzi mu Kampala omuli aganyakuddwa na ku batambuze.

Onyango agamba nti amassimu agabiddwa, gakyusibwa ‘serial number’ ssaako n’endabika yaago ne bagazza katale okutundibwa.

Abakwate bali ku CPS mu Kampala ku misango gy’obubbi era okunoonyereza kutandikiddewo.