Omubaka we Kawempe North Hajji Latif Ssebagala asabye bannakibiina kya National Unity Platform (NUP) abataafunye mukisa kufuna kaadi y’ekibiina okwesimbawo mu kulonda okubindabinda okwa 2021, okusigaza omutima gw’ekibiina, ku lw’obulungi bw’ekibiina ne ggwanga lyonna.

Ssebagala nga yakwasiddwa kaadi ya NUP ku bwa Loodi meeya bwa Kampala 2021, asabye Joseph Mayanja amanyikiddwa nga Dr. Jose Chameleone gwe yawangudde ku nsonga ya kaadi okuteeka enjawukana ebbali wabula okwegatta ku lw’obulungi bwa NUP.

Agamba nti, NUP yakoze bulungi okunoonya abantu abamaanyi mu ggwanga lyonna, abayinza okuleeta obuwanguzi era okusunsulamu, kwatambulidde ku mazima na bwenkanya.

Ssebagala agamba nti okwegatta nga bannakibiina kya NUP, kigenda kuyamba nnyo, Pulezidenti w’ekibiina kyabwe Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine okuleeta enkyukakyuka mu ggwanga mu kulonda kwa 2021 ssaako ne bannakibiina abakwasiddwa kaadi.

Wabula Chameleone yalangiridde nti ye si mwetegefu kuwagira Ssebagala ku bwa Loodi Meeya kuba tamusinga obusoobozi.