Omubaka omukyala owa Kampala Nabilah Naggayi Sempala, addukidde mu kibiina kya National Unity Platform (NUP) okusaba kaadi, okulemberamu ekibiina ku bwa Loodi Meeya bwa Kampala mu kulonda okubindabinda okwa 2021.

Okusinzira ku ssentebbe w’akakiiko k’ebyokulonda mu kibiina kya NUP Mercy Walukamba, akakiiko akasunsula abagenda okwesimbawo, webuzibidde nga balina amaanya g’abantu 2 abeegwanyiza obwa Loodi Meeya okuli Nabilah Naggayi Sempala  ne Kuruda Ssali.

Nabilah Naggayi Sempala
Nabilah Naggayi Sempala

Walukamba agamba nti olunnaku olw’enkya ku Lwomukaaga, lwe bagenda okusunsulamu, agenda okulembera NUP ku bwa Loodi Meeya.

Nabilah singa anaakwasibwa kaadi ya NUP, kabonero akalaga nti avudde mu kibiina kya FDC.

NUP okuddamu okunoonya omuntu, kidiridde eyabadde akwasiddwa kaadi Latif Sebaggala, eyawangudde Dr. Jose Chameleon okuva mu Lwokaano, ku lunnaku Olwokubiri nga 22, September, 2020.