Entiisa n’ekiyongobero bibuutikidde eggwanga Uganda oluvanyuma lwe yali meeya wa Kampala Al Hajji Nasser Ntege Ssebagala okufa enkya ya leero ku myaka 72.
Ssebagala afiiridde mu ddwaaliro lya International Hospital Kampala (HIK) e Namuwongo, Kampala oluvanyuma lw’okugwa mu kinaabiro ku ntandikwa y’omwezi guno ogwa September era yalongoosebwa oluvanyuma lw’ekyenda okwesiba.

Ssebagala ng'ali mu ddwaaliro
Ssebagala ng’ali mu ddwaaliro

Wabula nga 12, September, 2020, omusasi waffe yawayamu n’omugenzi mu ddwaaliro kyokka yategeeza nti wadde mulwadde, yalina esuubi okuwona amaangu, okusobola okwesimbawo ku bwa Loodi Meeya bwa Kampala mu kulonda kwa 2021.

Ssebagala yagamba nti “akyali mugumu nnyo era nkomawo na maanyi okuvuganya ku kifo kya loodi meeya wa Kampala era nsaba abawagizi bange okusigala nga bagumu kuba mpulira nteredde”.

Ssebagala wadde afudde, Kampala amubadde ku mutima kuba abadde agamba nti ye musajja omutuufu mu kiseera kino okuwa Bannakampala essanyu.