Kyaddaki Poliisi ekutte ssemaka sseduvutto ku misango gy’okusobya ku mwana omuto ali mu gy’obukulu 13.

Ssemaka Girigori Owago ali mu gy’obukulu 67 nga mutuuze ku kyalo Matakara mu ggoombolola y’e Muko mu disitulikiti y’e Rubanda yakwattiddwa.

Okusinzira ku Poliisi, omwana yasobezebwako sabiti ewedde ku Ssande bwe yabadde agenze ku lubalaza okwegama enkuba ku ssaawa nga 10 ez’akawungeezi.

Omwana yasobodde okuteegeza ku nnyina wakati mu kulukusa amaziga, era amangu ddala sseduvutto akwattiddwa ku musango gw’okujjula ebitanajja.

Elly Maate, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi agambye nti okunoonyereza kukyagenda mu maaso era amangu ddala Owago wakutwalibwa mu kkooti.