Poliisi ekutte omukyala ku misango gy’okuwasa omwana omuto ali mu gy’obukulu 11, naamukwasa omulimu, okumusanyusa mu nsonga z’omu kisenge buli kiro.
Omukyala Susan Akite ali mu gy’obukulu 34 nga mutuuze ku kyalo Amyel mu disitulikiti y’e Otuke, yakwattiddwa.
Okusinzira ku batuuze, omwana omulenzi abadde yabula okumala sabiti namba era abadde anoonyezebwa mu kitundu kyonna.
Wabula maama w’omwana Betty Adongo, agamba nti yafunye okuteegezebwa nti mutabani we, alina omukyala gy’abeera, era bageenze okunoonyereza, omwana yasangiddwa ng’ali mu nnyumba ya Akite yebase.
Ku Poliisi, omwana agambye nti omukyala buli kiro abadde amukozesa nga amusuubiza ebintu eby’enjawulo omuli Omunaanansi, ekikomando ssaako n’okumutwala okulaba firimu.
Omukyala, atwaliddwa ku kitebe kya Poliisi Otuke ku misango gy’okusobya ku mwana omuto era essaawa yonna bakumutwala mu kkooti.
James Ekaju, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Kyoga ey’omu mambuka agambye nti Poliisi, atandikiddewo okunoonyereza.
Download the Galaxy FM 100.2 App and listen to the radio while on the move.