Palamenti mu ggwanga erya Malawi egobye ekiteeso, eky’okubatonera obupiira bu galimpitawa, emitwalo 20 okuva mu kibiina ekirwanyisa Mukenenya ekya Aids Health Foundation.
Obupiira, bubadde bwakuteekebwa mu kabuyonjo za Palamenti omuli ez’abakyala ne z’abaami.
Wabula akulembera oludda lw’abakiise ba Palamenti abasinga obungi Richard Chimwendo, agambye nti Palamenti teyetaaga Kondomu nga buli mukiise wa Palamenti bw’aba azetaaze, asobola okuzetusaako.
Ate ssentebbe w’akakiiko ka Palamenti ak’ensonga z’ebyobulamu Maggie Chinsinga, agambye nti obupiira bu galimpitawa, bubadde bwakuyambako okutangira abakiise ba Palamenti obutalwala n’okusingira ddala abo, abatya okubulamuza ku maduuka.
Wabula Palamenti egamba nti singa baweewa obupiira, ekigenda kutattana linnya lyabwe n’okusindika sigino nti Palamenti, obwenzi busukkiridde ate nga abasiinga obungi bafumbo.
Amawulire mu ggwanga erya Malawi, galaga nti buli mwezi Palamenti erina okweyambisa obupiira 10,000, ng’abasinga okumweyambisa basajja ssaako n’abakyala abakyalimu endasi ez’okusinda omukwano.