Sipiika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga atabukidde Ssabaminisita Dr. Ruhakana Rugunda okwebulankanya ssaako n’abamyuka be, ekivuddeko emirimu gya Palamenti okutambula akasoobo.

Mu Palamenti akawungeezi ka leero, Kadaga agambye nti Palamenti eremeddwa okutambuza omuli n’okuyisa amateeka, olw’abakulembeze abaateekeddwa okutambuza emirimu gya Gavumenti okwebulankanya ssaako ne baminisita.

Sipiika Kadaga ne PM Rugunda
Sipiika Kadaga ne PM Rugunda

Rugunda amyukibwa Ssabaminisita asooka General Moses Ali, owokubiri Ali Kirunda Kivejinja, Minisita wa guno na guli Mary Karoro Okurut kyokka bonna basukkiridde okwebulankanya, ekyongedde okutabula sipiika.

Kadaga agamba nti Palamenti eyolekedde okunenyezebwa olw’okulemwa okutambuza emirimu gyaayo nga kivudde ku Ssabaminisita Rugunda ne Baminisita be okwebulankanya ne badobonkanye emirimu gya Palamenti.

Eddoboozi lya Kadaga

Mu palamenti, n’ababaka bayongedde okwesala nga bangi ku bo, baddayo dda mu Konsituwense zaabwe okuddamu okunoonya obuganzi, nga betekerateekera okulonda okubindabinda okwa 2021.