Poliisi etubuulidde wetuuse mu kunoonyereza ku musajja eyattiddwa ku kyalo Wampewo e Kasangati mu disitulikiti y’e Wakiso, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Ssande.
Omusajja atamanyikiddwa, yasangiddwa ng’ali mu kwerigomba ne muk’omusajja Nassozi Noeline mu kisenge kya Ssemaka nga yenna akanudde amaaso.
Ssemaka Charles Nkuubi ali mu gy’obukulu 50, olwayingidde mu nnyumba, amaaso gaatukidde ku mukyala we, nga yenna yegabudde dda.
Amangu ddala Ssemaka Nkuubi yakutte ekiti, nakikuba omusiguze ali mu gy’obukulu 20 eyabadde azannyira mu sowani ye era nafiirawo ate omukyala yasobodde okuduuka.
Wabula Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agambye nti omusiguze eyattiddwa, omulambo gukyabuliddwa ab’enganda era gukyali mu ggwanike ly’eddwaaliro ekkulu e Mulago.
Mungeri y’emu agambye nti omukyala akyaliira ku nsiko nga balina okumunoonya abayambeko mu kunoonyereza kuba ye mujjulizi yekka eyaliwo ate ssemaka Nkuubi ali ku misango gya kutta muntu era ssaawa yonna bakumutwala mu kkooti.

Eddoboozi lya Luke