Poliisi etubuulidde wetuuse mu kunoonyereza ku muyimbi Bucha Man eyakwattiddwa ku misango gy’okutwalira amateeka mu ngalo.

Mu katambi akaafulumidde ku mikutu migatta bantu, Bucha Man ng’ali ne banne, baasobodde okutuuza omuyimbi Rocky Giant wansi ku ttaka ne bamuyiira amazzi ssaako n’okumutimpula emiggo.

Wabula bwe yakwattiddwa, ku Poliisi yagambye nti, Rocky Giant abadde yasuubiza okutta abaana be, era y’emu ku nsonga lwaki yakubiddwa.

Rocky Giant
Rocky Giant

Mu sitetimenti ku Poliisi, Bucha Man ne banne 3 omuli mukyala we Maama Ghetto, bakkirizza okutimpula Rocky Giant emiggo era Poliisi egamba nti ekyakoleddwa, kimenya amateeka.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Rocky Giant singa yasuubiza okutta abaana, Bucha Man yabadde alina kuddukira ku Poliisi, okusinga okudda mu kikolwa, eky’okumenya amateeka.

Eddoboozi lya Enanga

Mungeri y’emu agambye nti Rocky Giant yagaanye okuwa sitetimenti, kwe kutegeeza Poliisi okwesonyiwa ensonga za Ghetto.

Enanga agamba nti Rocky Giant embeera gye yasangiddwamu, kirabika yabadde anywedde ebitamiiza wabula okunoonyereza ku kyagenda mu maaso nga ne Bucha Man yayimbuddwa ne banne kakalu ka Poliisi.

Bucha Man wadde yayimbuddwa, y’omu ku bakulembeze eyalondebwa omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni okumuwabula ku nsonga za Ghetto.