Entiisa ebuutikidde abatuuze ku katawuni k’e Buyala mu kibuga kye Jinja, omusajja ali mu gy’obukulu 40 bw’attiddwa era omulambo gwe, gusangiddwa okumpi ne Poliisi y’e Buyala enkya ya leero.
Kitegerekese nti James Magala ye mutuuze attiddwa era omulambo gwe gusangiddwa mu kitaba ky’omusaayi.
Omu ku batuuze Leila Namukuve, agamba nti Magala kiteeberezebwa nti yattiddwa mu kitundu ekirala, omulambo gwe, negusuulibwa okumpi ne Poliisi kyokka tewali kabonero kalaga nti yatugiddwa.
Wabula Joseph Wansala muganda w’omugenzi agambye nti Magala yavudde awaka akawungeenzi k’olunnaku olw’eggulo, teyakomyewo, agenze okutegeera nga muganda we yattiddwa.
Omulambo gugiddwawo ne gutwalibwa mu ggwanika ly’eddwaaliro ekkulu e Buwenge okwekebejjebwa era adduumira Poliisi mu kitundu ekyo Henry Mugarura agambye nti okunoonya abatemu kutandikiddewo.