Omubaka we Lubaga South mu Palamenti Kato Lubwama akangudde ku ddoboozi olw’ekibiina kya National Unity Platform (NUP) okuyisaamu abakulembeze amaaso.
Ku lunnaku Olwokutaano, abakulembeze mu kibiina kya NUP, bagaanye okuwa omubaka we Lubaga North Moses Kasibante kaadi okulemberamu ekibiina mu kulonda kwa 2021 ku bubaka bwa Palamenti.
Kaadi yaweereddwa sipiika w’olukiiko lwa KCCA, Kansala Rubaga North Abubaker Kawalya era 2021 agenda kwesimbawo ng’omubaka wa Palamenti owa NUP.

Bobi Wine ne Kasibante Moses
Bobi Wine ne Kasibante Moses

Wabula omubaka Lubwama agamba nti omubaka Kasibante asinga NUP amaanyi era tewali ngeri yonna gye bayinza kumuyisaamu maaso.
Agamba nti omubaka we Kyadondo East era Pulezidenti w’ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) alina ekigendererwa eky’okuggya mu Palamenti ababaka abamuyamba okugenda mu Palamenti.
Mungeri y’emu Lubwama agamba nti NUP eriwo kusanyawo abakulembeze ba FDC n’ekibiina era ebigenda mu maaso tayinza kubyewunya.

Eddoboozi lya Lubwama