Pasita Aloysius Bugingo y’omu ku basajja abasanyufu mu kiseera kino oluvanyuma lw’okufuna omukyala omulala ate nga muwala muto Susan Makula.

Pasita Bugingo yali musajja mufumbo nga wa mpeta ne Teddy Naluswa nga balina abaana wabula baafuna obutakaanya ne baawukana.

Ng’omusajja omulala yenna, Bugingo yafuna omukyala omulala Makula nga yali omu ku bakozi be ku laadiyo ne ttivvi ate nga mugoberezi we mu kkanisa eya House of Prayer Ministries International.

Bugingo, Teddy Naluswa ne Susan Makula

Wabula enkya ya leero abikudde ekyama bw’abadde asinzira ku Tv okusaba, ekiwadde abamu ku bagoberezi essanyu.

Bugingo alaze nti essaawa yonna mukyala we Makula agenda kumuzaalira abalongo afune erinnya lya Ssalongo.

Bw’abadde abuuza ku Bassalongo mu Uganda ng’ali ku TV agambye nti, “eyo layini nange nzijja muntegekere ekifo mu bba Ssalongo“.

Ebigambo bye wakati mu ssanyu, biraga nti mukyala we Makula ayinza kuba ali lubuto lwa balongo.