Poliisi y’e Iganga, etandiise okunoonyereza ku musajja eyattiddwa, nga yasangiddwa mu maka g’omubaka Peter Mugema amanyikiddwa nga Panadol.

Omusajja yattiddwa, omusirikale mu kitongole ky’obwannanyini ekikuumi ekya Blue Light Security Company nga kigambibwa yabadde agezaako okubba sipeeya ku mmotoka eziri mu kikomera obudde bw’ekiro.

Omusirikale nga yabadde akuuma amaka, yakubye essasi era omusajja agambibwa okuba omubbi yafiiriddewo.

Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga agambye nti omusirikale akwattiddwa okuyambako Poliisi mu kunoonyereza kuba wayinza okubaawo ensonga endala lwaki omusajja yattiddwa.

Eddoboozi lya Enanga