Poliisi y’e Kira, eri mu kunoonya omusajja ku misango gy’okutta muganzi we Gabeya Noah myaka 22 abadde omutuuze ku kyalo Kyaliwajala B mu Monicipaali y’e Kira.

Gabeya yattiddwa kabiite we Kabazi Gerald abadde yeeyita amaanya ag’enjawulo omuli Sentongo Reagan, Sekyanzi, My Phone myaka 25 ng’abadde mutuuze ku kyalo kye kimu.

Omulambo gwasangiddwa mu Botiiki ebadde ekola nga amaka gaabwe eya ‘Gabby and Ridden’ e Kyaliwajala era amangu ddala Poliisi yakutte omulambo ne gutwala mu ggwanika ly’eddwaaliro ekkulu e Mulago.

Abatuuze, bagamba nti omusajja abadde alumiriza mukyala we okwagala abasajja abalala ate ng’amutaddemu akasente ke, okuteekawo Botiiki.

Wabula okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, tekimanyiddwa lwaki omusajja yasse muganzi we wabula aguddwako omusango gw’okutta omuntu era Poliisi etandiise okumunoonya.