Omuwandiisi w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) mu disitulikiti y’e Kayunga Joseph Owuma, alekulidde era avudde mu kibiina nga kivudde ku kibba bululu ekyeyongedde mu kibiina kyabwe.

Owuma agamba nti baafunye abantu 20 nga bemulugunya ku byavudde mu kamyufu k’ekibiina mu Gavumenti ez’ebitundu omuli Bakansala kyokka okwemulugunya kwabwe tekwakoleddwako okutuusa akakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga lwe kakomekereza okusunsula abalina okuvuganya mu kulonda kwa 2021.

Agamba nti mu kiseera kino, avudde mu kibiina olw’abakulembeze okutambuliza ekibiina mu kubba akalulu nga n’emirimu emitongole egy’okuwandikira ekibiina agisuddewo.

Owuma One

Owuma mu ngeri y’emu agambye nti ssentebbe wa NRM e Kayunga, Moses Karangwa asukkiridde okulemesa abakulembeze okutambuza emirimu gyabwe omuli Fred Watuwa, akulira ebyokulonda mu disitulikiti y’e Kayunga.

Agamba Watuwa okulangirira abaawangula akamyufu nga si mikwano gya Karangwa y’emu ku nsonga lwaki obutakaanya bweyongedde.

Wadde avudde mu NRM, ssentebbe w’ekibiina mu ggwanga Yoweri Kaguta Museveni ne Ssaabawandiisi w’ekibiina mu ggwanga lyonna Justine Lumumba Kasule tebannaba kuvaayo okubaako ne kyeboogera ku nsonga ezo.