Kyaddaki Omuyimbi Lydia Jazmine alambuludde ku bigambibwa nti ali mu laavu ne muyimbi munne Fik Fameica.

Mu Uganda, ebigambo byogerwa nti Jazmine ne Fik bali mu laavu era y’emu ku nsonga lwaki balina n’oluyimba ‘Binji’, okweraga omukwano mu lujjudde.

Wabula Jazmine agamba nti Fik mukwano gwe nnyo, musajja alina talenti era y’emu ku nsonga lwaki balina kolabo.

Mungeri y’emu ategezezza nti bannayuganda balina eddembe lyabwe okugamba nti ye ne Fik bali mu laavu kuba bawagizi baabwe.

Jazmine agamba nti kolabo y’oluyimba lwonna okutambula obulungi, abayimbi balina okuba nga bakolagana nnyo era ye ne Fik, kisobodde okubayamba okutunda oluyimba lwabwe Binji.

Related Stories
Prince Philip dead: Queen’s husband has died – Here Is his net worth

What is Prince Philip's net worth? Prince Philip had a net worth of £30million ( Read more

ANTI KALE! Mugume temugenda kufa, abasawo bagumizza abantu ku AstraZeneca wa Covid-19

Mugume temugenda kufa lwa AstraZeneca wa Covid-19 Okutya kweyongedde mu ggwanga Uganda olw'abantu abeyongera okufa Read more

Ku nsonga y’okutegeeza eggwanga omusajja omutuufu ali ku mutima gwe, Jazmine agambye nti ye ayagala nnyo okukola ebintu bye mu nkukutu era wakutegeeza abawagizi be mu kiseera ekituufu.

Eddoboozi lya Jazmine ku Fik