Kyaddaki omugagga Hamis Kiggundu awangudde omusango gwe yatwala mu kkooti ng’avunaana Bbanka eya Diamond Trust okuggya ssente kw’akawunti ye mungeri y’olukujjukujju okumala ebbanga eriwera.
Ham yaddukira mu kkooti y’obusuubuzi mu Kampala ng’alumiriza Diamond Trust okuggya ssente, obuwumbi 120 kw’akawunti ye nga tewali ku mwebuzaako.
Enkya ya leero, omulamuzi Henry Adonya asingisiza Diamond Trust Bbanka omusango, ekiwadde bannamateeka ba Ham essanyu ssaako n’obuwanguzi.

Omulamuzi Henry Adonya
Omulamuzi Henry Adonya

Omulamuzi alagidde Bbanka okuddiza Ham ensimbi ze ssaako n’ensimbi zonna zafiiriddwa mu kutambuza omusango, okusasulira obudde bwe ng’ali mu kkooti ssaako n’okumudizza ebyapa, ebyatwalibwa mu ngeri emenya amateeka.
Bannamateeka ba Ham Enterprises Ltd aba Mwema Advocates, bali mu ssanyu olw’omulamuzi okulaga nti bawangudde omusango.

Ate Ham agambye nti ye ssaawa, okulwanyisa bbanka mu Uganda, ezegumbulidde okunyaga ensimbi z’abantu nga eky’okuwangula omusango olunnaku olwaleero, bannayuganda bonna bafunye obuwanguzi.
Agamba nti Bbanka, zeyambisa amateeka amakyamu okunyigiriza bakasitoma wabula asobodde okuwangula omusango.

Eddoboozi lya Ham

Ebiwandiiko, biraga nti Ham kasitoma mu Diamond Trust Bbanka era yewola ensimbi obuwumbi 41 nga yali akyabanjibwa obuwumbi 39 wabula Diamond Trust okuva mu ggwanga erya Kenya, kwe kutekateeka, okutwala ensimbi zonna ezaali kw’akawunta za Ham ssaako n’ebyapa bye.
Ham agamba nti Bbanka, yatandiika okuggya ssente ze kw’akawunta ze okumala emyaka egisukka mu 10, ezisinga kwezo ze yali abanjibwa nga tewali ku mwebuzaako ssaako n’okusigaza ebyapa bye, kwe kuddukira mu kkooti, gyawangulidde omusango.