Bannakibiina kya Justice Forum – JEEMA bakaanyiza okuwagira Pulezidenti w’ekibiina NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine ku bukulembeze bw’eggwanga lino mu kulonda kwa 2021.

Mu ttabamiruka w’ekibiina atudde Tal Cottages e Lubaga mu Kampala, bannakibiina bakirizza okuwagira ekiteeso, eky’olukiiko olukulu mu kibiina, okuwagira Kyagulanyi Ssentamu ku bukulembeze bw’eggwanga.

Aba JEEMA, bakaanyiza nti 2021 tebagenda kusimbawo muntu yenna ku bukulembeze bw’eggwanga lino, nga bagamba Kyagulanyi Ssentamu yagwanidde okulembera eggwanga ate abadde mukwano gwa kibiina emyaka egisukka 2.

Okusinzira ku Pulezidenti w’ekibiina Asumani Basalirwa, mu kiseera kino bali mu nteseganya okuteeka emikono ku ndagaano ku ngeri NUP ne JEEMA, webageenda okusimbawo abakulembeze mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo n’okutambuza eggwanga singa bakwata obuyinza mu kulonda kwa 2021.

Ate Asmat Nabalamba omu ku bannakibiina kya JEEMA abetabye mu ttabamiruka w’ekibiina agambye nti Kyagulanyi Ssentamu amuwagidde okumala ebbanga era mu kaseera kano ye muntu omutuufu okulembera eggwanga nga tebayinza kwekyusa.